Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Rubaga Joel Wegoye asindise ku limanda mu kkomera e Luzira abantu 135 lwa kusangibwa n’enjaga n’ebiragalaragala omuli n’abakyala n’abaami

Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 18, omwezi gunno ogwomwenda, ku kyalo Mabito mu Nateete mu Divizoni y’e Rubaga, abavunaanibwa okuli omukyala ow’emyaka 70 n’omusajja ow’emyaka 65 baasangibwa n’emisokoto gy’enjaga wakati we 18 – 40 mu ngeri emenya amateeka.

Omulamuzi Wegoye, abavunaanibwa tabakiriza kunyega kigambo kyonna kuba kkooti ye, terina buyinza kuwuliriza musango bwe gutyo.

Abavunaanibwa begaanye emisango egibasomeddwa era wakati mu kukuluma, bategeezeza nti abamu basiika chipusi, okutunda enkoko enjokye, okutambuza kalenda n’okufumba akatogo.

Mu kkooti, basabye okweyimirirwa kyokka omulamuzi agambye nti babadde bangi ng’obudde bugenze, kwe kubawa ennaku ez’enjawulo okuwuliriza okusaba kwabwe n’okutandiika nga 1, omwezi ogujja ogwe kkumi.

E Nateete, ekifo Mabito kimanyiddwa okusangibwamu abakyala abasamba ogw’ensimbi n’okutunda ebintu bya lejjalejja.