Bya Rashidah Nakaayi

Emmotoka ekika kya magulu kkumi namba UAX 495M eyingiridde emmotoka ezisukka mu 10 ku luguudo lwe Ntinda – Najjera ku nkulungo y’e Kiwatule enkya ya leero, ekireseewo omugoteko gw’ebiduuka.

Magulu kkumi ebadde ettise obuyinja obweyambisibwa mu kuzimba amayumba, enguudo ssaako n’ebintu ebirala ng’edda mu bitundu bye Ntinda.

Kigambibwa egaanye okusiba okumpi ne Hotero Eliana e Kavule neyingirira emmotoka endala.

Okusinzira ku berabiddeko nga akabenje kano kagwaawo, emmotoka ezisukka mu 10 zononeddwa nga waliwo n’omuvuzi wa bodabooda atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

Omusirikale wa tulafiki asangiddwa mu kifo awagudde akabenje Ssekajja, agambye nti ddereeva wa Magulu kkumi asobodde okuduuka era Poliisi etandiise okumunoonya okubategeeza ekituufu ekivuddeko akabenje.

Mungeri y’emu agambye nti omuwendo gw’abantu abafunye ebisago tegumanyiddwa mu kiseera kino.

Ate amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire agambye nti Poliisi atandiise okunoonyereza okuzuula ekivuddeko akabenje.

Abamu ku batwaliddwa mu ddwaaliro nga bafunye ebisago babadde mu takisi ssaako n’emmotoka z’obuyonjo.