Omuyimbi Rema Namakula ne bba Dr. Hamzah Ssebunya omukwano gwabwe guli mu bire kuba buli lunnaku laavu bagiteekamu ebisoko ebiwoomu.
Rema yayanjula bba Dr. Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 oluvanyuma lw’okusuulawo eyali taata w’omwana we Eddy Kenzo.

Nga 14, February, 2020, Rema alina konsati ku Africana Hotel mu Kampala ku lunnaku lwa Valentayini era Rema agamba nti alina okulinya ku siteegi ne kabiite we kuba wadde lunnaku lwa Konsati, alina okulaga Hamzah omukwano ku lunnaku lw’abaagalana.

Mu ngeri y’okwetekateeka, Rema asobodde okuteeka ebifaananyi ng’ali ne bba Dr. Hamzah ku mukutu ogwa Instagram mu ngeri y’okulumya eyali bba Kenzo kuba ye ekirooto kye kyatuuka, ali mu laavu n’omuntu ali ku mutima gwe Dr. Hamzah era batuusizza engoye za Valentayini.