Poliisi y’e Busoga North ekutte omusajja Yusuf Mukisa myaka 50, omutuuze ku kyalo Busamo mu disitulikiti y’e Kamuli ku misango gy’okutta omwana wa muganzi we, ali mu gy’obukulu 13 ssaako n’okulumya abalala babiri (2).

Mukisa yalumbye amaka ga muganzi we Elizabeth Mbwali nga taliwo era amangu ddala yakutte ejjambiya, kwe kusala Benjamin Mugaya ensingo era yafiiriddewo ssaako n’okutematema abato abalala Prossy Babirye ne Joan Kaudha.

Gwaliba Sarah, omu ku batuuze agamba nti abatuuze baawulidde miranga ng’abaana basaba obuyambi, webatuukidde okutaasa nga bali mu kitaba kya musaayi nga Mugaya amaze okufa.

Eddoboozi lya Gwaliba

Ate akulira ebyokwerinda mu ggoombolola y’e Butansi mu disitulikiti y’e Kamuli Moses Kaggwa, awanjagidde bassentebe ku byalo, okwekeneenya abantu, abaggya ku kyalo kyabwe, okwewala abantu abakyamu ku byalo.

Mungeri y’emu awanjagidde abakyala, obutesiga buli musajja yenna, okwewala ebikolwa nga ebya Mukisa.

Eddoboozi lya Kaggwa

Wabula Michael Kasadha, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, agamba nti Mukisa akwattiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kamuli ku misango gy’obutemu.

Mungeri y’emu agamba nti Mukisa wakutwalibwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa obwongo nga tebannaba kumutwala mu kkooti.

Ate ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi, kigamba nti abantu musanvu (7) abagambibwa nti bawambibwa, abazze balabikira ku ‘List’ y’abantu abanoonyezebwa, tebali mu mikono gyabwe.

Abantu bano 7 okuli George Kasumba, Agnes Nabwera, Sarah Nanyanzi, Mathew Kigozi, Mathew Kafeero, Ibrahim Chekedi ne John Damulira, bazze, balabikira ku ‘list’ y’abantu abasukka 60, ey’abantu abanoonyezebwa.

Kigambibwa, bawambibwa ebitongole ebikuuma ddembe mu Kampala, Masaka ne Mukono, mu Kampeyini za 2020 eza Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.

Wabula akulira eby’amateeka mu kitongole ekya Poliisi Erasmus Twaruhukwa, agamba nti abantu abo, tebali mu mikono gyabwe.

Mungeri y’emu agamba nti ebikwata ku bantu abo, omuli amassimu, ebitundu byabwe, engeri gye batwalibwamu, byali bitankanibwa, nga y’emu ku nsonga lwaki, okunoonyereza kukyali kuzibu ddala, okuzuulibwa bwe kiba nga ddala batwalibwa.

Asabye abantu bonna abalina amawulire amatuufu, okuvaayo okuyamba ku Poliisi, okusobola okunoonyereza.