Poliisi y’e Kyotera ekutte ssemaka ku by’okutta musajja munne lwa kumuteebereza kusigula mukyala we.

Mathias Mulumba nga mutemi wa nnyama e Kasambya mu tawuni Kanso y’e Kyotera yakwattiddwa ku by’okutta Zaidi Ngobya.

Okusinzira ku batuuze, Mulumba aludde ng’alumirizza Ngobya okwagala mukyala we era akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande, yamulimbye namutwala mu maka ge.

Mulumba yayingidde mu nnyumba era yakutte ejjambiya naatema Ngobya ku nsingo, yafudde bakamutuusa mu kalwaliro akali okumpi ku kyalo.

Mulumba olumaze okutta Ngobya yeetutte ku poliisi n’ejjambiya nga yonna ebunye omusaayi.

Akulira okunoonyereza ku misango ku Poliisi y’e Kyotera Patrick Mafundo, agambye nti Mulumba aguddwako gwa butemu era essaawa yonna, batwala mu ddwaaliro okumwekebejja obwongo.