Omusajja eyatta abakyala ebenjawulo mu ggwanga erya Nigeria asindikiddwa kalaba.

Gracious David myaka 40 yatta abakyala 9 wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomwenda omwaka oguwedde ogwa 2019.

Wabula omulamuzi wa kkooti enkulu Adolphus Enebeli agambye nti Gracious balina kumutta nga batuga mutuge.

Kigambibwa omusajja oyo, yali atwala abakyala mu loogi nga baganzi be, oluvanyuma ne battibwa.

Ate Poliisi egamba nti yatta abasukka 15 wabula ku bakyala 6 balemeddwa okufuna obujjulizi newankubadde yakkirizza okubatta.

Nigeria yakoma okuwanika abantu kalaba mu 2016 era abantu 3 bebattibwa.