Poliisi ekyanoonyereza ku basajja babiri (2) abaakwatibwa sabiiti ewedde ku misango gy’okwenyigira mu kubba emmotoka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Abaakwatibwa kuliko Nsereko Farouk amanyikiddwa nga Kasasa Hassan ne Wambi Joseph amanyikiddwa nga Kato Daniel.

Poliisi egamba nti abakwate, baludde nga benyigira mu kubba emmotoka n’okutundibwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era baludde nga banoonyezebwa.

Okusinzira ku Charles Twiine, omwogezi wa Poliisi enoonyereza ku misango, Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza okuzuula akabinja k’abantu abaludde nga bakwatagana ne  benyigira mu kubba emmotoka.

Twine agamba nti oluvanyuma lw’okunoonyereza, Nsereko ne Wambi bakutwalibwa mu kkooti.