Nnalulungi wa Uganda Quiin Abenakyo 22 akomyewo olunnaku olwaleero.
Abenakyo eyatikkiddwa engule ya Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika mu mpaka za Miss World 2018 ezabadde mu kibuga Sanya ekya China atuuse ku kisaawe Entebbe ku ssaawa 7:30 ez’emisana.

Ku kisaawe, ayaniriziddwa abantu bangi ddala omuli aba famire, abantu babuligyo, bannabyabufuzi nga ne minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Sam Kutesa, minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, eyaliko minisita w’ettaka n’enkulaakulana y’ebibuga, Daudi Migereko babaddeyo nnyo.

Migereko ayozayozeza Abenakyo okutumbula Uganda mu nsi yonna era amusabye okusigala ku mulamwa gw’okuweesa Uganda ekitiibwa mu Africa ne mu nsi yonna.

Ate Minisita Kiwanda asabye Abenakyo okwerabira okusomozebwa kwayiseemu wabula okutunulira ebirungi byatuseeko.
Mungeri y’emu asiimye aba Famire, okubazaalira omwana asobodde okutunda Uganda naweebwa erinnya erya Quiin ng’akyali mwana muto lyasobodde okutukiriza mu bukulu.

Ku kisaawe Entebbe, Quiin Abenakyo afunye ekinyegenyege era asobodde okwogerako eri bannamawulire wakati mu ssannyu okuva mu bantu abenjawulo abamwanirizza.
Mu kwogera kwe, asiimye bannayuganda okumwagala n’okujjumbira okulonda okusobola okumuwa omukisa okulondebwa mu nsi yonna nga Nnalulungi akwata eky’okusatu ate nga mu Africa yasinga.

Mu kiseera kino alindiriddwa mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Entebbe okumuyozayoza ku birungi byatuseeko ye ng’omuntu ne ku lwa Uganda yonna.

Abenekyo yakoze likoddi bwe yafuuse Munnayuganda asoose mu byafaayo by’empaka za Miss World okutuuka ku buwanguzi obwo.