•  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  

Ekitongole ky’amaggye ekya Uganda People’s Defence Forces (UPDF) kikutte omuyimbi munnansi wa South Sudan ku by’okusangibwa n’emmundu n’amasasi.

Okeny Rom Grace amanyikiddwa nga Wangaras Suspect yakwatiddwa mu ggoombolola y’e Palabek Kal mu Disitulikiti y’e Lamwo era akuumibwa mu kaduukulu k’amaggye Gulu.

Okusinzira ku mwogezi w’amaggye w’ekibinja eky’okuna  Maj Caesar Olweny, Wangaras Suspect yasangiddwa n’emmundu ekika kya SMG n’amasasi 15.

Maj Olweny era agambye nti batandiise okunoonyereza okuzuula lwaki omuyimbi Wangaras Suspect yayingiza emmundu mu Uganda okuva mu South Sudan.

Mungeri y’emu agambye nti wadde mu South Sudan abamu ku bannansi balina emmundu, tewali muntu yenna akirizibwa kuyingiza mmundu mu Uganda kuba ebyokwerinda bitebenkedde.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •