Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti alina laavu ku bakyala ebenjawulo era y’emu ku nsonga lwaki alina omukisa okuwangula emitima gy’abakyala ebenjawulo.
Mu biseera ng’ali n’omukyala Zari Hassan, Platnumz yafulumya oluyimba Iyena ng’ali ne Rayvanny era mu vidiyo y’oluyimba olwo, Zari gwe baakozesa mu vidiyo okulaga nti waliwo omukwano.
Laavu eyaliwo wakati wa Zari ne Platnumz kyali kizibu nnyo okulowooza nti basobola okwawukana.

Mu mbeera eyo, Platnumz alina vidiyo y’oluyimba mwatadde omuwala Tanasha Donna Oketch gw’ayagala mu kiseera kino era oluyimba lwa mukwano.
Wabula Tanasha alina okukimanya nti Platnumz byonna byakola mu kiseera kino, yabikola dda ku mulembe gwa Zari.

View this post on Instagram

LOADING… @barakjacuzzi #comingsoon 🎶🇰🇪

A post shared by Tanasha Donna Oketch (@tanashadonna) on