Bya Kanyesigye Phionah

Lydia Jazmine y’omu ku bayimbi abakyamudde abadigize ku mukolo gwa Zzina Awards ku Theatre LaBonita mu Kampala sabiti ewedde ku Lwokutaano kyokka yalese bangi ku basajja waaya zekyangidde mu mpale.

Jazmine yalinye ku siteegi ng’ayambadde akagoye akalaga ffiga yonna era abadigize baawuliddwako nga boogera ebigambo ebyenjawulo wakati mu kusaakanya.

Jazmine ng’alina Work, he he he he, Rema alina okwenyweza, bwe kiba kituufu nti Kenzo amwagala, ali ku kituufu, omwana ng’atukula alabika bulungi, alina ffiga, ate ayimba bulungi, wadde naffe tuli bakyala, tewali nsobi yonna Kenzo okwagala Rema ne Jazmine kuba bombi bawala balungi“, abamu ku bakyala mu kivvulu kya Zzina Awards nga boogera ku Jazmine mu kiseera ng’ali ku siteegi.

Jazmine y’omu ku bayimbi abakyala abawangudde empaka mu Zzina Award eya Best Collaboration n’oluyimba lwe You and Me lwe yayimba ne Daddy Andre.