Omusango oguvunaanibwa omuyizi ku ttenedekro lya YMCA, Brian Isiko ow’emyaka 25 tekugenze mu maaso n’olunnaku olwaleero.
Isiko avunaanibwa omusango gw’okukozesa obubi kompyuta bweyaweereza omubaka Sylvia Rwabwoogo myaka 42 obubaka obumukwana nga kigambibwa nti kino kyamummalako emirembe. Kigambibwa nti wakati wa November 2017 ne June 2018 emyezi gino Isiko yali ku mikutu gwa facebook nga agezaako okukwana omubaka Rwabwogo.
Enkya ya leero, kitegezeddwa nti omulamuzi ali mu mitambo gyomusango guno, Stella Amabilisi taliwo era gwongezeddwaayo okutuusa nga 22, May, 2019.
Oludda oluwaabi lugamba nti Isiko wakati wa November 2017 ne June 2018 yasindikiranga omubaka Rwabogo obugambo obujjudde omukwano, era kigambibwa enamba y’essimu y’omubaka, yagifuna okuva ku ‘website’ ya palamenti.

Isiko yali yasibwa emyaka ebiri olw’okuweereza Rwabogo obubaka obumukwana naye kkooti enkulu yasazaamu byonna ebyakolebwa mu kkooti ento n’eragira omusango guddemu buto okuwulirwa.