Poliisi yaakutandika okulaga obutambi obukwatibwa kkamera ezaatekebwa mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo kisobozese bannayuganda okulaba n’okumanya omugaso gwazo.
Okusinzira ku omwogezi wa poliisi Fred Enanga, bafunye olukusa okulaga obutambi buno eri bannansi newankubadde nga luli kibadde kiyinza okuleetawo obuzibu mu kunoonyereza ku bumenyi bw’amateeka omuli obutemu.


Enanga era agambye nti kkamera zisobodde okuyamba okukendeza ku bumenyi bw’amateeka n’okusingira ddala mu Kampala omuli okunyakula ensawo z’abakyala, amasimu, okusala ensawo era abamu ku bakwattiddwa batwaliddwa mu kkooti.

Ku lwa Poliisi, Enanga agamba nti bangi ku bannayuganda tebanamanya mugaso gwa kkamera era singa batandika okulaga ensi ebikwatiddwa kkamera, balina essuubi nti ebikolobero mu ggwanga bigenda kukendera mpolampola