Poliisi y’e Kagadi ekutte omusajja abadde yefudde omukyala ng’akola mu bbaala okumala ebbanga.

John Mark Bukenya myaka 22 yakwattiddwa ku kyalo Kichwamba mu ggombolola y’e Fort Portal, ng’abadde mukozi mu bbaala Muhorro Rest House Bar era okusaba omulimu, yakozesa amaanya g’omukyala Ceriner Namayanja.

Bukenya okwattibwa, kidiridde nannyini bbaala Charles Mugisa okumwekengera n’asaba abakozi abakyala okumonoonyerezako kuba yalemeddwa okuleeta Densite y’eggwanga.

Abakozi abakyala, bakizudde nti Namuyanja bulijjo musajja era Poliisi eyitiddwa nakwatibwa.

Ku Poliisi gyatwaliddwa agambye nti, abasajja bakola emirimu emizibu nga yasalawo okwefuula omukyala, asobole okugyewala.

Mungeri y’emu agambye nti olw’obutaba n’amuzadde, yasalawo okwefuula omukyala, okwanguyirwa mu kunoonya ensimbi okwebezaawo.

Poliisi emuguddeko omusango okwefuula kyatali kyokka ekisinze okwewunyisa abakozi banne, ebbanga lyakoze nabo, abadde ayogera ng’omukyala, okutambula ssaako n’ennyambala.

Mu ngeri y’emu ku Poliisi, abasajja ab’enjawulo bakungaanye nga bemulugunya okubalyako ssente zzaabwe nga yefudde omukyala era nga bamu balina esuubi okubazaalira abaana oba okubalambuza ebyalo.