Bya Zainab Ali

Abayimbi abeggatira mu kibiina kyabwe ekya Uganda Musicians Association (UMA) baddukidde ewa Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga, abayambe ku James Wasula nga ye Ssabawandiisi wa Uganda Performing Rights Society – UPRS, ekibiina ekiyambako okulwanirira eddembe ly’abayimbi, bannakatemba n’ab’ebitone ebirala nga bamulumiriza okubanyigiriza.

Abayimbi nga bakulembeddwamu Pulezidenti wabwe Sophie Gombya balopedde Kadaga nti Wasula asukkiridde okubba ssente zaabwe ezikunganyizibwa ku Laadiyo ez’enjawulo, Ttiivi n’ebifo ebirala ebizannya ennyimba za bannayuganda.

Polodyusa w’ennyimba Bushington asabye sipiika Kadaga okubayambako Wasula okugibwa mu ntebe okusinga okweyongera okudibaga emirimu.

Mu kiwandiiko kye bakwasizza Sipiika Kadaga era banokoddeyo ensonga ez’enjawulo ezibanyigiriza omuli okulemesa banaabwe okufuna ‘Visa’ nga bageenda ebweru okuyimba, obutabaawo tteeka eritangira abantu okwozaamu ennyimba zaabwe erya Copyright ssaako ne kampuni z’amassimu okweyambisa ennyimba zaabwe, nga ‘Caller Tunes’, nga tebafunye wadde 100.

Abayimbi bagamba nti embeera ezo, ziviriddeko banaabwe okusigala nga bali mu mbeera mbi ate nga bakola nnyo n’okutekamu ssente okufulumya ennyimba.

Wabula Kadaga mu kwanukula abasuubiza okukola ku nsonga zaabwe mu bbanga tono ddala n’okusingira ddaka etteeka erya ‘Copyright’.

Abamu ku abayimbi abetabye mu nsisinkano ne sipiika kuliko omubaka wa Lubaga South Kato Lubwama, Renah Nalumansi, Big Eye, King Micheal, Fina Mugerwa amanyikiddwa nga Masanyalaze n’abalala.