Mu nsi y’omukwano, ebintu bingi bikyuka, abamu balina essanyu mu laavu yabwe ate abalala balina ebizibu basiiba mu maziga.

Mu kiseera kino, abamu ku bannayuganda bayinza okugamba nti n’omuyimbi Eddy Kenzo ali mu maziga oluvanyuma lwa mukyala we Rema Namakula okumusuulawo.

Wabula Ssenga Kawomera bw’abadde awayamu naffe agambye nti Kenzo akyali muvubuka muto, alina omukisa okuddamu okufuna omukyala omulala omulungi okusinga ne Rema.

Mungeri y’emu Ssenga agambye nti, Kenzo asobodde okweyambisa obufumbo bwa Rema okufuna eky’okuyiga era singa afuna omukyala omulala, ebintu bingi nnyo bigenda kukyuka.

Ssenga Kawomera era agambye nti Kenzo alina okukimanya nti Rema teyali mberera, yaliko mu laavu n’abasajja abalala, ng’omusajja omulala yenna (Kenzo), alina okunoonya omukyala omulala.

Wadde alina ssente, erinnya, olabika bulungi, olina okuwa omukyala ekitiibwa n’okumumalako ennyonta ya laavu mu kisenge kyokka Kenzo yalemeddwa okuwa Rema essanyu, Rema muwala muto, alina okufuna omusajja amuwa essanyu mu bulamu bwe era eyinza okuba emu ku nsonga lwaki yasuddewo Kenzo ku lwa Dr Hamza Ssebunya” Ssenga Kawomera.