Abamu ku bawagizi b’ekisinde ki People Power batabukidde Omuyimbi Eddy Kenzo nti mbega eyali asindikiddwa aba National Resistance Movement (NRM) okubabega.
Aba People Power bagamba nti Kenzo bwe yali mu kivvulu ky’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi amanyikiddwa nga Bobi Wine ekya ‘Kyarenga concert’ ku One Love beach e Busabaala nga 10, November, 2018, yayimba oluyimba lwe ‘Biwoobe’ okulaga embeera embi eri mu ggwanga wansi wa Gavumenti ya NRM era yasuubiza okuyambako Bobi Wine, okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga era yakubiriza abavubuka okwebereramu.

Mungeri y’emu bagambye nti oluvanyuma lwa Kenzo okukyalira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu State House, alaga nti Museveni ye muntu omuntu okulembera eggwanga Uganda, ekiraga nti talina mugongo mu byabufuzi.

Nga 26, December, 2019, omuyimbi Bebe Cool bwe yabadde ayogerako naffe e Kiwatule yagambye nti Kenzo yavudde mu People Power kuba yalabye omusana era kati muwagizi wa Pulezidenti Museveni.

Mungeri y’emu Kenzo bwe yalinye ku siteegi mu kivvulu kya Bebe e Kiwatule yagambye nti ebyobufuzi tebirina kubawula, aba Peole Power, NRM ne FDC ssaako n’ebibina ebirala bonna bannayuganda era balina okukolagana wadde buli omu alina ekibiina kye n’omuntu gw’awagira, “In love we believe and in love we trust. Politics can’t divide our country we are one forever and forlife. It was emotional to see both people power, NRM and FDC supporters in one music concert enjoying together, I will always love you my Uganda“.

Wabula abamu ku bawagizi ba People Power bagamba nti Kenzo mbega era talina kudda mu nkambi zaabwe ate waliwo n’abawagizi ba NRM abagamba nti Kenzo wa Peope Power kyokka bonna tewali alina bukakafu.
Byonna ebigenda mu maaso mu ggwanga, Pulezidenti Museveni agamba nti buli muntu yenna waddembe okuwagira gw’ayagala kyokka tewali muntu yenna akirizibwa kutisatiisa munne mu byobufuzi.

Kigambibwa Kenzo alina abaana babiri (2) kyokka omukyala we Rema Namakula yamusuddewo lwa butamutuusa ku ntikko mu kisenge era yafunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya gwe yayanjudde mu bazadde nga 14, November, 2019.