Poliisi ekutte abaagalana abasangiddwa nga bali kusinda mukwano ku loogi ya Muwanga pub e Bukolooto mu disitulikiti y’e Kayunga.

Poliisi ebadde eteeka mu nkola ekiragiro kya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekya loogi zonna mu ggwanga okuggalwa ng’emu ku ngeri y’okutangira  ekirwadde kya Covid-19 okusasaana, oluvanyuma lw’akawuka ka Corona Virus okutuuka mu Uganda.

Ku Muwanga pub,  Poliisi yatalaaze ebisenge by’abagenyi kimu ku kimu ne basangamu abaagalana abasinda omukwano era omusajja abadde munyivu nnyo olw’okumulemesa emirimu gy’okutuusa omukyala ku ntiiko.

Ekikwekweeto kya Poliisi nga kikulembeddwamu RDC we Kayunga Mwanamoiza Kikomeko, abantu 17 bebakwattiddwa okuva mu loogi ez’enjawulo.
Kikomeko agamba nti abakwate bagenda kuyimbula ku kakalu ka Poliisi kuba mu kiseera kino kkooti ziri mu luwumula ku biragiro bya Ssabalamuzi Bart Magunda Katureebe ng’emu ku ngeri y’okwetangira obulwadde bwa Covid-19, obusasaanyizibwa akawuka ka coronaVirus.