Palamenti eyimiriza entekateeka y’okuwa abantu emmere ebadde etandiika olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga.
Ssabaminisita Dr. Ruhakana Rugunda yalangiridde nti bassentebbe ku byalo bagenda kuyambako okuwa abantu emmere abali mu bwetaavu, mu kiseera kino nga bali waka oluvanyuma lw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okulangirira Kalantini ne Kafyu mu ggwanga lyonna okumala ennaku 14, ng’emu ku ngeri y’okutangira Corona virus okusasaana.

Okusinzira ku kiwandiiko, Dr.Rugunda agamba nti abantu balina okufuna kkiro z’akawunga 6, ez’ebijanjalo 3 ssaako n’omunnyo ate abakyala abalwadde ssaako n’abali embuto, bageenda kubagattirako amata g’obuwunga kkiro 2 ssaako ne ssukkaali kkiro 2 mu disitulikiti y’e Kampala ne Wakiso n’okutandiika olunnaku olw’enkya ku Lwomukaaga nga 4, April, 2020.

Wabula Palamenti ebadde ekubirizibwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga eyimirizza okugaba emmere mu bantu,
Kadaga agamba enkola y’okugigaba tenaba kuba nambulukufu era Gavumenti erina okunoonya ssente okuyamba abantu mu ggwanga lyonna okusinga okusosola abantu okuyamba disitulikiti 2 zokka Kampala ne Wakiso.