Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti asajjakudde mu kisaawe ky’okuyimba era ku myaka 29, kati mukugu mu nsonga z’omukwano.

Jazmine alina oluyimba olupya Omalawo nga lwa mukwano era mu luyimba agamba nti, ” Love, love Love Love Love, Mukama yampa amaaso, nga ayagala nkulabe, ng’ayagala nkufune….lw’oberawo ngonda“.

Ebigambo bya Jazmine biraga nti ku mulundi guno ali mu laavu era ebyogerwa nti ali mu mukwano ne muyimbi munne Fik Fameica biyinza okuba ebituufu.

Jazmine alaze nti alina okukola ebintu eby’enjawulo okumanyisa abantu oluyimba lwe era ku mulundi guno, asinzidde mu mmotoka mu mutto gwe mabega okulaga nti ali mu laavu nga bwayimba akayimba ke.

 

View this post on Instagram

Have You Listened To #OMALAWO ? Link On Bio!👆🏽🥰 Fit @sashzcloset Mua @nahya_glam_

A post shared by Lydia Jazmine (@lydiajazmine) on