Bya Zainab Ali

Omubaka w’abakozi mu Palamenti Sam Lyomoki asitudde engugu ze nazikuba ku Palamenti, nalayira okwebakawo, okutuusa nga Palamenti eyisizza ebbago erikwata ku kittavu ky’abakozi ekya NSSF.

Omubaka Lyomoki agamba nti Palamenti eyisizza ebiteeso eby’enjawulo nga talaba lwaki eya NSSF ekyaganye okuyisibwa, nga Palamenti yekwasa nga Minisita avunaanyizibwa ku kikula Ky’abantu Frank Tumwebaze bw’atabeerawo buli kiseera.

Sam Lyomoki
Sam Lyomoki

Mu Palamenti akawungeezi ka leero ebadde ekubirizibwa Sipiika Rebbeca Kadaga, Lyomoki alemeddeko nga ayagala Minisita ow’abakadde n’abaliko obulemu abadde amaze okulayira, Sarah Kanyike yaba asoma ebbago lino omulundi ogwokubiri, Sipiika kyagaanye era agambye nti Minisita Kanyike akyali mupya ng’ensonga ezigenda mu maaso mu Palamenti, tannaba kuzimanya bulungi.

Kino kiwaliriza Sipiika Rebecca Kadaga okuyimiriza okuteesa kw’olukiiko lwaleero, okutuusa olunaku lw’enkya ku Lw’okuna ku ssaawa munaana ogw’emisana olwa Lyomoki okulemerako nagaana okuddayo okutuula wabula okuwanyisiganya ebigambo.

Kadaga V Lyomoki 

Lyomoki okutabuka, kidiridde kilaaka wa Palamenti okutegeeza Palamenti yonna nti ensonga eddako okutesebwako ekwata ku NSSF wabula Minisita w’akabozi Muruli Mukasa kwekusaba Sipiika okugyongera wakiri sabiti 2 okutuusa nga Minisita Frank Tumwebaze avunaanyizibwa ku kikula Ky’abantu azzeemu okujanjula eri Palamenti.

Mukasa

Ebbago eryogerwako, ligendereddwamu okulaba nga abakozi mu ggwanga abatereka ne NSSF basobola okufuna ku nsimbi zabwe nga tebanaweza myaka 55 nga eteeka bweriragira mu kiseera kino kubanga abantu abasinga bafa nga tebazirabyeko.