Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti tewali muntu yenna ayinza kubaggya ku mulamwa gwakukyusa buyinza mu ggwanga.

Kyagulanyi agamba nti okuvuganya ssentebbe w’ekibiina ki NRM Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa ku lunnaku Olwokusatu mu disitulikiti y’e Luuka, natwalibwa ku Poliisi y’e Nalufenya.

Mu kkooti e Iganga, yaguddwako emisango gy’okugyemera ebiragiro bya Minisitule y’ebyobulamu ne Gavumenti eby’okulwanyisa Covid-19.

Wabula Kyagulanyi bwe yabadde ayogerako eri abawagizi be ku kitebe kya NUP e Kamwokya, yagambye nti bannayuganda betegefu okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga mu kulonda kwa 2021.

Mungeri y’emu agambye nti enneyisa y’ebitongole ebikuuma ddembe eraga nti balina obutitiizi, okutya n’okuggwamu esuubi kyokka 2021 alina okukwata obuyinza ku lw’obuyinza bw’abantu, okuzaamu abantu esuubi.

Eddoboozi lya Bobi

Ate omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agamba nti Kyagulanyi wakuddamu Kampeyini olunnaku olw’enkya ku Mmande nga 23, November, 2020 mu disitulikiti y’e Kyenjojo ne Fort portal.

Mungeri y’emu agambye nti balina okuddamu okukola entekateeka z’okugenda mu bitundu bye Mpigi, Masaka, Kalungu, Mbarara, Lyantonde kuba Poliisi yabalemesezza olw’okusiba Kyagulanyi.