Nga bangi ku bannayuganda bakyebuuza ekyawalirizza bannayuganda okunganira ku New Vision ku Lwokusatu nga besuunga Pulezidenti wa ‘illuminati’ mu Uganda Kamadah Mulyowa nate waliwo ebipya ebizuuliddwa.

Abantu n’okusingira ddala abavubuka bavudde mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bagamba nti Pulezidenti wa ‘illuminati yabasuubiza okukola ku nsonga zaabwe omuli okubawa ensimbi obukadde obusukka mu 5 buli omu.

Poliisi yawaliriziddwa okweyambisa amasasi mu bbanga okubagumbulula kyokka bangi baalemeddeko nga bagamba nti okubasindikiriza kigendereddwamu kubalemesa kusisinkana Pulezidenti Mulyowa owa illuminati.

Oluvanyuma akulira kampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga yetondedde abantu era yabasabye okudda awaka kuba tewali muntu ‘illuminati’ agenda kubawa ssente era yagambye nti, “omusajja yatufeze naffe ne tubafera naye mutusonyiwe“.

Wabula Juma Kato omu ku bantu abaavudde mu bitundu bye Katwe agambye nti Kabushenga okugamba nti omusajja yabafeze, kabonero akalaga nti yabadde akutudde ddiiru ne Pulezidenti w’emisambwa okuyamba abantu nga naye alina essuubi okufuna ku ssente kyokka yalabiddewo ng’omusajja yabadde mufere.

Ate omukyala ategerekeseeko erya Sarah agambye nti ebyabadde ku Vision Group, birimu omukono gwa Eddy Kenzo okugezaako okubaggya ku mulamwa gwa Rema Namakula kuba olunnaku olwaleero alina okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde.

Sarah agamba nti pulaani ya Kenzo egudde butaka kuba wadde olunnaku olw’eggulo emboozi ya Pulezidenti w’emisambwa yabadde ku mimwa gy’abantu kyokka obudde webukeeredde nga besuunga mukolo gwa Rema.