Bya Nalule Aminah

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni awadde abakulira Poliisi amagezi okuzimba “Police Station” ku buli ggombolola era zissibwemu abaserikale 20 nga kuliko n’abanoonyereza ku misango, era bafube okukolagana n’abantu.

Museveni agamba nti Poliisi okulwanyisa obuzzi bw’emisango mu ggwanga, abasirikale balina okuva mu offiisi okudda mu bantu n’okwongera amaannyi mu kulawuna obudde bwonna.

Bwe yabadde agalawo ttabamiruka w’akaiiko akafuzi mu kitongole ekya Poliisi (Police Council) olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri ku kitebe kya Poliisi e Nagguru, Museveni yanenyezza ekitongola kya Poliisi okumalanga gata bazzi ba mismango ku kakalu kaayo, ekivuddeko abantu okwenyigira mu kuzza emisango.

Ku nsonga ezo ne Ssaabaduumizi wa Poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ategeezezza nti amagezi gano bamaze akabanga nga bagakozesa wabula balina okwongeramu amaannyi.