Abantu 86 basindikiddwa ku limanda mu kkomera lye Kitalya ku misango gy’okugyemera Kafyu y’omukulembeze w’eggwanga, eyatandiise akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri.

Bonna basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Mariam Ayo Akello ku Buganda Road akawungeezi ka leero.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, ku Lwokubiri sabiti eno, (31, March, 2020) abakwate, baasangibwa nga batambula mu kiseera kya Kafyu.

Mu kkooti, basabye omulamuzi okusonyiyibwa ng’abamu bagamba nti baali badda waka ate abalala bagambye nti baali ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ku CPS, okuloopa emisango gy’okubabba.

Bonna, basindikiddwa ku limanda okutuusa nga 16, omwezi guno Ogwokuna.

Kinnajjukirwa nti akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yalangirira Kafyu okuva ssaawa 1 eyakawungeezi okutuusa ssaawa 12 n’ekitundu ez’okumakya, okumala ennaku 14 ng’emu ku ngeri y’okutangira Corona Virus okusasaana mu ggwanga.

Mu kiseera kino, Uganda erina abalwadde 44.