Abatuuze ku kyalo Masanafu, Bukulungi mu Divizoni y’e Rubaga basigadde bawuniinkiridde, mutuuze munaabwe bw’abadde agezaako okwetta.

Edgar Kyamanywa myaka 40 yekumyeko omuliro ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero ku bigambibwa omukyala gw’abadde ayagala okuteeka mu makaage, yamugaanye.

Wabula abatuuze, baasobodde okumutaasa ne bazikiza omuliro nga yenna aweddemu amaanyi era yabadde asemberedde okufa.

Abamu ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amaanya gaabwe, bagambye nti Kyamanywa yasangirizza omukyala gwabadde yegwanyiza ng’ali n’omusajja omulala benywegera, ekyamuggye mu mbeera okwagala okwetta.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agambye nti omusajja Kyamanywa atwaliddwa mu ddwaaliro e Kiruddu naye nga ali mu mbeera mbi.

Mungeri y’emu agambye nti abaana ba Kyamanywa bagamba nti kitaabwe abadde yatiisatiisa dda okwetta olw’omukyala gwabadde ayagala, okufuna omulenzi omuto wabula Poliisi ya Kampala mukadde etandiise okunoonyereza.

Eddoboozi lya Luke