Munnamateeka Male Mabiriizi Kiwanuka avuddeyo nawandiikira akakiiko k’ebyokulonda nga yemulugunya ku buyigirize bw’omubaka Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.

Male Mabiriizi
Male Mabiriizi

Mabiriizi agamba nti okusinziira ku mukutu gwa Palamenti gulaga nti Kyagulanyi yazaalibwa mu 1982, natuula S6 ng’alina emyaka 16, S4 yagituula alina emyaka 13 olwo P7 nakituulira ku myaka 9. Mabirizi ayongerako nti kitegeeza ono yatandika okusoma ku myaka 2 mbu ekimuleetera okubuusabuusa.

Munnamateeka Mabiriizi agamba nti talina buzibu na Bobi Wine wabula asabye akakiiko k’ebyokulonda okunoonyereza n’okuzuula oba ddala Bobi Wine alina ebiwandiiko ebituufu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda.