Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, alaze lwaki akyalina okusigala mu ntebe newankubadde waliwo abalemeddeko okumusindikiriza n’okumusaba okuwumula obukulembeze.

Museveni agamba nti okugatta Uganda ne Africa ssaako n’okukyusa embeera z’abantu y’emu ku nsonga lwaki yakomyewo okuddamu okwesimbawo mu kulonda okubindabinda okwa 2021.

Bw’abadde ayogerako eri abakulembeze mu disitulikiti y’e Kumi, Museveni agambye nti okusigala mu Ntebe, tanoonya mulimu wabula ku lw’obulungi bwa Uganda ne Africa.

Mungeri y’emu asabye abalonzi mu ggwanga lyonna okulonda abakulembeze lwa busobozi lwa si mawanga wadde okwesigana ku ddini.

Eddoboozi lya Museveni