Poliisi y’e Mukono ekutte omusirikale ku misango gy’okutta omuntu n’okulumya abasirikale babiri (2).

Omugenzi Rajab Nsejje myaka 23 abadde mutuuze mu katawuni k’e Kabembe mu ggombolola y’e Kyampisi e Mukono yakubiddwa essasi agaamutiddewo n’okulumya abasirikale okuli Special Police Constables (SPC), Jimmy Osubo ne Moses Mubiru.

Ettemu lyakolebwa ku Lwokutaano ku ssaawa 3 ez’ekiro mu Katawuni k’e Kabembe ku luguudo oluva e Mukono okudda e Kayunga.

Okusinzira ku Luke Owoyesigyire amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala, abasirikale 3 basaanze abasuubuzi nga bakyakola mu ssaawa za Kafyu.

Abasuubuzi olwagaanye okuggalawo okudda awaka, omusirikale Gerald Agaba yakubye omusuubuzi Nsejje amasasi agaamutiddewo oluvanyuma kwe kukuba abasirikale banne amasasi agaabalumizza nga bagezaako okumuggyako emmundu.

Owoyesigyire agamba nti Omusirikale Agaba okuva ku Poliisi y’e Nkonge akwattiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Naggalama.

Patrick Nsenye, muganda w’omugenzi agamba nti Nsejje yabadde agenze mu katawuni okuggya ku ssente ku ssimu ku Mobile Money.

Eddoboozi lya Nsenye