Eyakwatira ekibiina ki National Resistance Movement (NRM)  bendera ku ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga era eyalangirirwa ku buwanguzi bw’akalulu k’obwa president Yoweri Kaguta Museveni ataddeyo okwewozaako kwe mu kkooti ensukulumu mu musango Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) gweyamugulako mu kkooti eno nga agamba nti yakozesa yafeesi ey’obukulembezze bw’eggwanga okutabulatabula okulonda.

Bobi Wine eyakulembeddwamu ekibiina kya National Unity Platform (NUP) agamba nti okulonda tekwali kw’amazina na bwenkanya kuba yalemesebwa ebitongole ebikuuma ddembe (Poliisi n’amaggye) okutambula mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okunoonya akalulu era ayagala kkooti esazeemu okulonda.

Kyagulanyi ng’ayita mu kkampuni za bannamateeka ttaano ezaakulembeddwa Lukwago & Company Advocates yataddeyo omusango mu kkooti Ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa Museveni mu kulonda okwakaggwa.

Barbie itungo ne Bobi Wine
Barbie itungo ne Bobi Wine

Museveni mu kwewozaako kwe yeeganye okubeera n’omukono mu byonna ebyakolebwa ku Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abawagizi be mu kiseera ky’okuwenja akalulu kwosa okukozesa obubi yafeesi namenya amateeka agafuga eby’okulonda era asabye kkooti omusango guno egugobe kubanga tegulimu nsa.

Bannamateeka ba Museveni mu kkooti
Bannamateeka ba Museveni mu kkooti

Ate bbo bannamateeka wa Bobi Wine nga bakulembeddwamu Anthony Wameli olunnaku olw’eggulo bazzeeyo mu kkooti okwongera okuwaayo obujjulizi nga bagamba nti balina okukola kyonna ekisoboka okuggya Museveni mu ntebe nga bayita mu mateeka.

Empaaba ya Bobi Wine mu kkooti
Empaaba ya Bobi Wine mu kkooti

Museveni ayise mu bannamateeka be aba Kiwanuka Karugire and Company Advocates. Oscar Kihika munnamateeka wa NRM yategeezezza Galaxy nti baakuyungula bannamateeka abawera 40 wabula okutuusa eggulo baabadde bakyasunsula okusalawo buli omu ky’agenda okukwata.

Okusinzira ku byalangiriddwa ebyenkomeredde ku ntebe y’obwa Pulezidenti, Yoweri Kaguta Museveni yawangula okulonda kwa 14, Janwali, 2021 n’obululu 6,042,898 (58.38%) ate Bobi Wine 3,631,437 (35.08%).

Mu kkooti, Bobi Wine yatwalayo Mukulu Museveni eyawangula, akakiiko k’ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa Gavumenti.

Pulezidenti Museveni okutwala kwewozaako kwe mu kkooti, kabonero akalaga nti anyodde Bobi Wine omukono okumulemesa okutuula mu ntebe y’obwa Pulezidenti ssaako ne mukyala we Barbie itungo okugwamu esuubi ly’okufuuka First Lady.