Abadde amyuka omukulembeze w’eggwanga erya Zimbabwe Kembo Mohadi myaka 71 alekulidde lwa bw’enzi.

Kigambibwa Kembo abadde asukkiridde okusaba abakyala abafumbo akaboozi ssaako n’abawala abato era okuva omwezi oguwedde, amaloboozi nga yesoma nga bw’ali omusajja emekete mu nsonga z’omu kisenge n’ebisoko byakozesa mu kusaba omukwano gabadde gayitingana.

Amaloboozi, Kembo abadde asaba abakyala ab’enjawulo okusisinkana mu offiisi ye okubaako kyebetusaako.

Bw’abadde alekulira ng’amyuka omukulembeze w’eggwanga erya Zimbabwe Kembo agambye nti si musajja mutiitiizi wabula akikoze ku lw’obulungi bw’eggwanga n’okuwa offiisi ekitiibwa.

Kigambibwa wadde alekulidde, agenda kunoonyereza abantu abayingidde mu ssimu ze okufulumya amaloboozi, okumuswaza.

Related Stories
ANTI KALE! Mugume temugenda kufa, abasawo bagumizza abantu ku AstraZeneca wa Covid-19

Mugume temugenda kufa lwa AstraZeneca wa Covid-19 Okutya kweyongedde mu ggwanga Uganda olw'abantu abeyongera okufa Read more

Fire Destroys Condoms, Mosquito Nets At JMS Ware House In Industrial Area

Fire Destroys Condoms A fast spreading fire has on Friday afternoon gutted ware houses on Read more

Agamu ku maloboozi ng’asaba omuwala okumusisinkana mu Inn Hotel emu ku zamaanyi mu ggwanga erya Zimbabwe kuliko eno.


  • 693
    Shares