Ensonga z’omu kisenge zitabudde abafumbo, ekirese omukyala ng’abba amulumyeko okutu.

Ssemaka Simon Kabuubi ali mu gy’obukulu 60 yasigadde maziga, olwa mukyala we Beatrice Abigaba, abatuuze ku kyalo Kirasa 1 cell, mu ggoombolola y’e Masindi mu Monicipaali y’e Masindi, okumulumako okutu

Entabwe n’obutakaanya, kyavudde ku musajja okulangira omukyala obwenzi nga bw’alina abasajja abalala ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, ekikesezza leero.

Omukyala yavudde mu mbeera olwa bba gwamaze naye emyaka 25 okumulangira obwenzi era olw’obusuungu, y’emu ku nsonga lwaki yamulumyeko okutu.

Ate omukyala Abigaba agamba nti bba alemeddwa, okwekolako saviisi mu nsonga z’omu kisenge kwe kutandika okumulangira obwenzi.

Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Hamza Kabaka, Kabuubi ne mukyala we baludde nga balina obutakaanya nga bba, alangira omukyala nga bwe yafuna embaliga.

Wabula addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Masindi Ednah Nyinareza, agamba nti Poliisi eyingidde mu nsonga ezo.

Mungeri y’emu avumiridde eky’abafumbo okutwalira amateeka mu ngalo.