Abasajja abagambibwa okuba abakuuma ddembe nga bali mu byambalo ebya Bulaaka bazzeemu ne bakwata omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana.

Ssewanyana ayimbuddwa okuva mu kkomera e Kigo mu disitulikiti y’e Wakiso akawungeezi ka leero kyokka abadde yakafuluma ekkomera, okutambula okugenda eri famire ye, abasajja nga bali mu mmotoka eyakazibwaako erya ‘Drone’, bazzeemu okumukwata era atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Okusinzira ku munnamateeka we era omubaka omukyala wa Kampala, Shamim Malende, Ssewanyana atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.

Malende era agamba nti okuddamu okukwata Ssewanyana, kikolwa kya kutyoboola sseemateeka wa Uganda n’okutyoboola eddembe ly’obuntu mu ggwanga.

Ssewanyana ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North bali ku misango egiwerako omuli egy’obutemu esatu (3), okulya mu nsi olukwe ssaako n’okugezaako okutta omuntu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana era ku limanda mu kkomera e Kigo, bamazeeyo sabiiti ezisukka mu bbiri (2).

Ssegirinya ne Ssewanyana mu kkooti e Masaka

Ssewanyana wadde abadde ayimbuddwa, ebya Ssegirinya sibirungi era alina okusigala mu kkomera e Kigo okutuusa enkya ku Lwokutaano oba sabiiti ejja.
Newankubadde akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande, omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba, yakkiriza okusaba kwabwe okweyimirirwa, Ssegirinya wakusigala mu kkomera.
Okusinzira ku Muloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago era munnamateeka waabwe, akawungeezi ka leero omuwandiisi wa kkooti ewozesa bakalintalo Beatrice Atingu, agaanye okuyimbula Ssegirinya o lwa Francis Zaake, omubaka wa Monicipaali y’e Mityana obutabaawo.

Zaake ali bweru wa ggwanga kyokka y’omu ku bantu abasatu (3) abeeyimirira Ssegirinya ng’ali ne banne okuli Walugembe Robert ne Ndiwalana Christine nga mu kkooti, bonna babadde betaagibwa okuteeka omukono ku biwandiiko, ebiggya Ssegirinya mu kkomera.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka lugamba nti, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.

Birivumbuka agamba nti batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.

Ssegirinya ne Ssewanyana abali ku misango gye gimu n’abantu abalala abasukka mu 10 omuli Christopher Sserwadda, 23 omutuuze we Nyendo-Mukungwe, Mike Sserwadda ne Jude Muwonge nga batuuze ku kyalo Setaala.

Abalala kuliko Batesta Mutabaazi, Joseph Kayabula, Ashraf Kayinza, Issa Ssebunnya, Moses Kaganda ne Kaboyo Henry nga bonna batuuze ku kyalo Byanjiri mu disitulikiti y’e Lwengo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/403436187952212