Munnamateeka Male Mabirizi addukidde mu kkooti ya sseemateeka mu Kampala ng’awakanya emisango emiggya egyagguddwa ku bakiise ba Palamenti, bannakibiina ki NUP, Allan Ssewanyana owe Makindye West ne Muhhamed Ssegirinya owe Kawempe North.

Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Ssegirinya ne Ssewanyana baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako e Masaka Charles Yeitese ne bagulwako emisango emiggya egy’obutemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Ssegirinya, Ssewanyana, Jackson Kanyike ng’avuga bodaboda e Makindye n’abalala, benyigira mu kutta Joseph Bwanika eyali omutuuze ku kyalo Kisekka B mu ggoombolola y’e Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo nga 2, Ogwomunaana, 2021.

Omulamuzi yazzeemu okubasindika ku limanda mu kkomera e Kigo 13, omwezi ogujja Ogwekkumi, 2021.

Wabula munnamateeka Mabirizi, addukidde mu kkooti ng’awakanya emisango.

Male Mabirizi

Mabirizi agamba nti emisango emiggya egy’okutta omuntu, gye gimu n’emisango emikadde egy’obutemu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021.

Mu kkooti, agamba nti emisango gyonna egy’obutemu, balina kukyusa fayiro z’emisango ku musango omukadde, okuteekako amannya g’abantu abazze battibwa okusinga okubaggulako emisango emiggya.

Mabirizi agamba nti ebikolebwa, bigendereddwamu Ssegirinya ne Ssewanyana okubakuumira mu kkomera.

Eddoboozi lya Mabirizi

Abakulembeze mu disitulikiti y’e Buikwe bali mu kutya olw’omuwendo gw’abaana abangi, aboolekedde okuwanduka ku massomero.

Ate abakulembeze bagamba nti newankubadde omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, yalangiridde nti abaana, abali mu ‘Secondary ne Primary’ baakudda ku massomero omwaka ogujja ogwa 2022,  abawala beyongedde okufuna embutto ate abalenzi, okutandikikawo obulimu, obuyinza okuvaako ensimbi omuli okusiika Chapati, okuvuga bodaboda ssaako n’okwenyigira mu kuvuba.

Wabula ssentebe LC5 mu disitulikiti y’e Buikwe Jimmy Kanaabi, bw’abadde awayamu naffe, awanjagidde abazadde okweyigiramu okutangira embeera okusajjuka, okutangira abaana okufuna embutto, okusobola okudda ku massomero.

Okusinzira kw’alipoota ya disitulikiti, abaana abawala abasukka mu 700, bafunye embutto wakati w’emyaka 14 – 16 mu myaka 2 egiyise, ekirese bangi ku bazadde nga basobeddwa.

Alipoota eraga nti abazadde okulagajjalira abaana baabwe, nsonga nkulu nnyo, ekivuddeko bangi ku baana okufuna embutto.

Alipoota era eraga nti abaana bangi bafunye embutto mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/416224903201610