Pulezidenti w’eggwanga erya Bufalansa Emmanuel Macron azzeemu okuwangula obukulembeze bw’eggwanga eryo, mu kulonda okwadiddwamu.

Mu kw’okulonda kw’olunnaku olw’eggulo ku Ssande, Macron yafunye obululu ebitundu 58.55% okuwangula Marine Le Pen.

Mu byafaayo bya Bufalansa, Macron ye Pulezidenti okuddamu okulondebwa mu myaka 20.

Emmanuel Macron awangudde obwa Pulezidenti

Mu kulonda okwasooka nga 10, April, 2022, ku bantu 12 abaali mu kalulu, Le Pen yakwata kyakubiri (2) ate Macron yawadde yakwata kisooka, yalemwa okufuna ebitundu 50+1 ku 100.

Emmanuel Macron myaka 44 yazaalibwa mu December, 21, 1977. Yalondebwa ku bwa Pulezidenti mu kusooka mu May, 14, 2017.

Marine Le Pen awanguddwa

Oluvanyuma lwa Macron okuddamu okulondebwa, abakulembeze b’ensi ab’enjawulo bavuddeyo okumuyozaayoza olw’obuwanguzi.

Bano kuliko Pulezidenti wa Senegal Macky Sall, Ssaabaminisita we Ethiopia Abiy Ahmed, Pulezidenti wa Rwanda Paul Kagame.

Macron, asuubiza okuddamu okutambuza obukulembeze bwe ku nsonga ez’enjawulo omuli okulwanyisa ebbula ly’emirimu, okutumbula tekinologye, okutumbula ebyenfuna, okutambuza amasanyalaze mu ggwanga lyonna.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=gr2pGlbDBFk