Palamenti eragidde Minisita w’emirimu n’enguudo Gen. Katumba Wamala okunoonyereza ku kyavuddeko akabenje akasse abantu 20 olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku luguudo lwe Fort Portal -Kampala.

Omu ku batuuze ayogeddeko naffe agambye nti bbaasi ya Link yavudde ku kkubo neyefuula emirundi egiwera era Poliisi weyatuukidde okutaasa ng’abantu 20 bamaze okufa ate nga bangi bataawa olw’okumenyeka emikono, amagulu nga bonna batonnya musaayi.

Akabenje kaabadde ku kyalo Sebitoli, kilo mita 15 okuva mu kibuga Fort Portal okumpi ne Kibaale National Park.

Wabula Faridah Nampiima, omwogezi wa Poliisi y’ebidduka, yagambye nti ku baafudde 20, 13 abantu bakulu, 7 baana bato.

Nampiima era yagambye nti 11 baabadde basajja ate 9 bakyala ate abaafunye ebisago baatwaliddwa mu ddwaaliro lye Buhinga okufuna obujanjabi ssaako n’emirambo okwekebejjebwa.

Nampiima era agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko akabenje.

Wabula Mu Palamenti akawungeezi k’eggulo, amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa, yalagidde Minisita Gen Katumba Wamala okuvaayo ku nsonga eyo.

Tayebwa yalagidde Minisita Gen Katumba okunoonyereza ekyavuddeko akabenje n’okwongera okuteekawo embeera, okutangira omuwendo gw’abantu abeyongedde okufa nga kivudde ku bubenje.

Olunnaku olw’eggulo, Minisita Katumba yayimiriza mbagirawo bbaasi za kampuni za link okumala wiiki bbiri (2) Gavumenti yeetegereze awaviira ddala obuzibu.

Ate entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Buwologoma mu ggoombolola y’e Nabukalu mu disitulikiti y’e Bugiri, omusajja myaka 24 Umar Muzungu bw’attiddwa ku Pate gy’abadde ategese mu makaage.

Kigambibwa Muzungu ne banne basatu (3), baasobodde okupangisa ekidongo ne bayita mikwano gyabwe, okubegatako ku Pate, mu kiro, ekikeeseza olwaleero.

Wabula ku ssaawa nga 10 ez’ekiro, Muzungu mbu yafunye obutakaanya ne mikwano gye era omu ku mikwano gye, yamukubye eccupa ku kyenyi, olwagudde wansi yafiiriddewo.

Omulambo gwa Muzungu, gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Bugiri, okwekebejjebwa.

Ismael Buyinza, ssentebe w’ekyalo, agamba nti pate yabadde esingako bavubuka era yakubidde Poliisi essimu, amangu ddala ng’afunye okutegeezebwa nti Muzungu attiddwa.

Ate Geoffrey Kakaire, ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Nabukalu, agamba nti abavubuka obutaba na mirimu, okweyambisa ebintu omuli enjaga, y’emu ku nsonga lwaki bangi benyigidde mu kuzza ebikolobero.

Omu ku bavubuka (amannya gasirikiddwa) agamba nti waliwo omuwala eyatabudde Muzungu ne banne nga buli agamba nti muganzi we, ekyavuddeko okulwanagana.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Busoga East Diana Nandawula agamba nti Poliisi eriko mikwano gy’omugenzi 3 gyeri mu kunoonya, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=evTLripi3fc&t=381s