Omukyala akubiddwa lwa kudda waka ng’awunya akaboozi nga n’empale agyerabiddeyo mu nsiko

Poliisi y’e Rubanda ekutte ssemaka Turyatunga Jerome ku misango gy’okutta mukyala we Magdalene Kobusingye ku kyalo Ntungamo mu Tawuni Kanso y’e Rubanda.

Akawungeezi k’olunnaku Olwokubiri, omusajja yakubyekubye mukyala we Kobusingye ku bigambibwa nti yakomyewo nga yebwalabwala ate nga yenna awunya akaboozi nga n’empale y’omunda tagirina.

Omukyala yakubye enduulu okuyambibwa kyokka olw’emiggo, amaanyi gamuweddemu.

Omusajja olw’okutya okungi, yagaanye okutegezaako omuntu yenna, kwe kutwala omukyala mu kalwaliro akali okumpi era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro.

Famire y’omukyala yafunye okwekengera era okwekebejja omulambo, kwe kuzuula nti omukyala yakubiddwa emiggo era omulambo kwe kutwalibwa mu ddwaaliro ekkulu e Kabale okwekebejjebwa.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti omusajja Jerome akwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Mungeri y’emu Poliisi ekutte omukyala omu ku misango gy’okusobya ku baana babiri (2) n’okwagala okubatta ku kyalo Conte Africa  e Kamwokya mu Kampala.

Omu ku baana, myaka 6 yasobezebwako sabiiti ewedde ku ssande nga 14, March, 2021 oluvanyuma yasuulibwa ku luguudo lwa Rotary Avenue olumanyiddwa nga Lugogo Bypass ng’ali mu mbeera mbi.

Wakati mu kulukusa amaziga olw’obulumi, bamutwalako mu ddwaaliro e Naguru gye yagibwa okumutwala mu ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Ate omwana ow’okubiri myaka 8, yasobezeddwako abantu abatamanyiddwa ne bamutuga okwagala okumutta era Poliisi yamusanze ku Church Road ng’ali mu mbeera mbi, naye ne bamutwalako mu ddwaaliro e Naguru gye bamuggye okumwongerayo mu ddwaaliro e Mulago.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agambye nti basobodde okweyambisa kkamera eziri ku nguudo okulaba omukyala eyakutte omwana ku mukono okumutwalira abasajja okumusobyako.

Onyango agamba nti omukyala aguddwako emisango gy’okwagala okutta omwana n’okwenyigira mu bikolwa eby’okusobya ku mwana omuto.

Ate maama w’omwana eyasobezeddwako, Rose Nakato Mukasa ng’asangiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago, wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti omwana we, embeera eyongedde okubiggya nga mu kiseera kino, talina kyasobola kwekolera.

Mungeri y’emu awanjagidde abakulembeze mu ggwanga ssaako n’abuli kitongole ekikola ku nsonga z’abaana, okuyambako Poliisi okunoonya abasajja bonna abaasobeza ku muwala we.