Maama wa Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North, akiikidde ensingo ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni olw’okulemwa okusonyiwa omwana we.

Maama Justine Nakajumba akadde kutambula okulumba Palamenti, okusisinkana Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah, okumutegeeza ku nsonga za Mutabani we Ssegirinya.

Wakati mu kulukusa amaziga ng’atambula ku luguudo lwa Parliamentary Avenue, agamba nti mutabani we Ssegirinya mulwadde nga yetaaga obujanjabi kyokka Muzeeyi Museveni wadde amukaabidde ebbanga ddene, omutabani akyali mu kkomera.

Nakajumba agamba nti bukya mutabani we asibwa, tamanyi mbeera gy’alimu nga ye ssaawa sipiika Oulanyah okumutaasa alabe ku mutabani we n’okutegeera embeera gy’alimu.

Wabula abasirikale n’abakozi ku Palamenti bamwaniriza ne bamusuubiza okumuyamba kwe kumutwala mu kasenge akamu, okulinda sipiika Oulanyah.

Maama wa Ssegirinya

Sabiiti ku Lwokubiri nga 23, omwezi guno ogwa November, 2021 kkooti esookerwako e Masaka yasindise Ssegirinya mu kkooti enkulu, okwewozaako ku misango egimuvunaanibwa.

Ssegirinya ali ku misango gye gimu n’omubaka Allan Ssewanyanan owe Makindye West ssaako n’abantu abalala.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20.

Mu kkooti, bali ku misango omuli egy’obutemu, obutujju, okuwagira ebikolwa eby’ekitujju n’okugezaako okutta abantu.

Bukya bakwattibwa, bakulungudde ebbanga erisukka emyezi 3, nga bali ku limanda mu kkomera e Kigo.

Wabula mu kkooti sabiiti ewedde, Ssegirinya yakulukusa amaziga, bwe yatageeza nti embeera ye, eyongedde okubiggya.

Ssegirinya yategeeza, singa tayambibwa okufuna obujanjabi obusinga kw’obo, obuli mu kkomera, ayolekedde okufa.

Ate abasuubuzi mu Kampala abeegatira mu kibiina kyabwe ekya KACITA bavuddeyo ku lwa Munnayuganda omusuubuzi, eyalabikidde mu katambi nga yenyigidde mu kutunda enseenene ku nnyonyi ya Uganda Airlines.

Mubiru Paul myaka 27 nga mutuuze we Nsambya mu Kampala ne munne, eyamukwata akatambi Hajib Kiggundu, baguddwako emisango esatu (3), omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okutambuza Covid-19, okugyemera ebiragiro by’oku nnyonyi ne benyigira mu kutunda eby’okulya nga tebakkiriziddwa n’okwolesa empisa ensiwuufu.

Wabula Mubiru bw’abadde ayogerako n’omusasi waffe Nakaayi Rashidah mu Kampala, asabye okusonyiyibwa.

Agamba nti yakikoze olw’obutamanya nga waliwo mukwano gwe eyamusabye okumuguza ku nseenene nga tamanyi, kimenya amateeka.

Asabye aba Uganda Airlines okumusonyiwa ne bannayuganda bonna kwekyo ekyakoleddwa.

Ku nsonga ezo, ssentebe w’ekibiina kya KACITA Musoke Nagenda, asabye Gavumenti okuvaayo okusomesa abantu ennenyisa y’oku nnyonyi, okutaasa abantu okuddamu okumenya amateeka.

Nagenda era asabye Gavumenti okusonyiwa Mubiru ne Kiggundu ku by’okutunda enseenene ku nnyonyi okusinga okuteekawo embeera ey’okubalemesa emirimu gyabwe ku myaka emito.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=U3WXq44wlLw&t=59s