Omuyimbi Eddy Kenzo alangiridde nti mwetegefu okuddamu okuyimba mu Uganda omwaka ogujja ogwa 2020 okuwa abawagizi be essanyu n’okubasiima okumubererawo mu kiseera nga balina obutakaanya ne Sheikh Sheikh Nuhu Muzaata Batte.

Okusinzira ku mikwano gya Kenzo egimuli ku lusegere, “Kenzo ategese ekivvulu mu January wa 2020 e Lugogo Rugby Grounds okuyimbira abawagizi be n’okubebaza okumugumya mu kiseera ng’attunka ne Muzaata”.

Mungeri y’emu bagambye nti,”mu kusooka ekivvulu kyabadde kya 20,000/- wabula Kenzo kenyini n’asalawo kibeere ku 10,000/- kifune omutima omutuufu ogw’okuddiza abawagizi be n’okujjaguza okuwangula engule ya African entertainer of the year (omuyimbi wa Afrika asinga okusanyusa abantu ng’ali ku siteegi).

Kinnajjukirwa nti Kenzo yali alangiridde nga bw’agenda okuddamu okuyimba mu Uganda oluvanyuma lwa Sheikh Muzaata okumulangira okulya ebisiyaga n’okuwasa nnyina kati omugenzi.
Kenzo yategeeza nti okuddamu okuyimba mu Uganda, Sheikh Muzaata alina okumwetondera kyokka tekimanyiddwa oba yamwetondedde.

Wabula abamu ku bawagizi ba Kenzo bagamba nti omuyimbi wabwe (Kenzo) okutegeka ekivvulu, kiraga nti Rema aswadde nnyo kuba yali alina ekirowoozo nti okusuulawo Kenzo kisobola okumulemesa okuddamu okuyimba mu Uganda olw’okuswala.